Amawulire

Emmundu ezzemu e South Sudan

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

south sudan warriors

Okulwanagana kuzzeemu buto mu ggwanga lya South Sudan.

Kuno kwekusoose bukyanga gavumenti n’abayekeera bassa emikono ku ndagano esaba nti okulwanagana kukome

Okulwanagana kuno kutandikidde mu kibuga malakal kyokka nga buli omu anenya munne okutandika okulwana kuno

Gavumenti egamba nti era okulwanagana kubaluseewo mu bibuga ebitali bimu