Amawulire
![Emmundu eyabbibwa kati yekozesebwa okutigomya ebitundu bye Mityana](https://www.dembefm.ug/wp-content/uploads/guns-251x200.jpg)
Emmundu eyabbibwa kati yekozesebwa okutigomya ebitundu bye Mityana
Bya Barbra Nalweyiso
Abatwala eby’okwerinda mu districts ezikola obwagagavu bwkeitunfdu kya Wamala basattira, oluvanyuma olw’emmundu eyabbibwa ku musirikale omu mu district ye kiboga, okuteberezebwa nti kati ekozesebwa mu bumenyi bwamateeka okuli okubba abantu.
Okusinziira ku akulira eby’okwerinda mu district ye Mityana, omubaka wa gavumenti mu kitundu kino Hamani Ssentongo emmundu eno yabbibwa abantu abatanategerekeka, era okuva olwo ebikolwa byokunyagulula abantu bigenze byeyongera.
Wabula agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe tebitudde, bikola butaweera okununula emmunfdu eno okugyediz, okutebenkeza ekitundu.
Kinajukirwa ku Lwomukaaga wiiki ewede, waliwo obutemu obwemundu obwakolebwa e Busunju omwafira omuntu omu.