Amawulire
Emmere eyagabwa mu biseera byómuggalo teyali ku mutindo
Bya Benjamin Jumbe,
Alipoota ya ssababalirizi webitabo bya gavt eyomwaka 2020 eyolese nti emu ku emmere eyagabwa mu muggalo teyali ku mutindo
Ssababalirizi we bitabo bya gavt John Muwanga mu alipoota gyasomedde ababaka mu lukiiko lweggwanga olukulu tanni za kasooli 2615 ezaweebwa bannauganda okulya mu kiseera kyomugalo tezekebejebwa kitongole kya gavt ekyomutindo
Songa ate ne bijanjalo ebiweza tanni 2,017 tebyekebejebwa
Okusinzira ku Henry Muyimbwa principal assisitant avunanyizibwa ku gavt ezebitundu, kunsimbi obusse 4 nobuwumbi 300 gavt zeyafuna mu biseera byomuggalo, obuwumbi 311 zokka zezaweebwako embalirira