Amawulire

Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 gigenda kukendeera

Emiwendo gyabalwadde ba COVID-19 gigenda kukendeera

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekitongole ekivunayizbwa ku kutegekera egwanga, National Planning Authority balagudde nti emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe aba buli lunnaku gigenda kwongera okukka mu wiIki 2 ezijja.

Ebibalo ebya wiiki eyatandise nga 10 Okitobba okutukira ddala nga 16, biraga nti abalwadde mu kubala okwangu 86 bebajja okufunika mu lunnaku, ate wiiki awamu babeere 604.

Ate mu wiiki enaddako, okuva nga 17 okutuukira ddala nga 23 Okitobba mu lunnaku 82 bebajja okufunika, ate mu wiiki yonna omugatte babeere 576.

Mu mawanga agokumulirwano, era abalwadde baakuekndeera mu Kenya ne Rwanda mu wiiki ebbiri ezijja, atenga mu Tanzania abalwadde baakwongeyongera.

Akulira ebya sayansi mu kitongole kya NPA, Eng Abraham Muwanguzi yanyonyodde ebibalo bino.