Amawulire

Emivuyo mu kulonda kwe byalo

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2018

No comments

Bya Magembe Sabiiti, Sadat Mgogo, Gertrued Mutyaba ne Benjamin Jumbe

Okulonda kwe byalo kugenze mu maaso wabula wakati mu buvuyo, mu bitundu ebitali bimu.

Okutandikirako ku kyalo Nakamiro zone e Bwaise mu division ye Kawempe.

Eno abalonzi abavudde emu mbeera, nebalemesa okulonda oluvanyuma lwomu ku besimbyewo Deo Senkungu okumujja mu Lwokaano.

Kino kiwalirizza poliisi okub iyingiramau, nga bakautte enkalala zabalonzi nebakuliita nazo.

Wabula Senkungu akirizza nti ddala alina amaka ga mirundi 2, nga kyekimu ku bivuddeko okutabulwa.

Abalala ababadde mu Lwokaano kuliko John Zziwa ne Moses Kizito.

Ate e Mubende waliwo ekyalao okulonda gyekuyimiriziddwa.

Omusasai waffe Magembe Sabiiti era atubuliidde nti abantu bangi amannya gaabwe tegalabikidde ku nkakala zabalonzi, nga byebimu ku bivuddeko obutakanya.

Akavuyo kabaddi ku kyalo Secondary Central, nga kati abasirikale bayiriddwa mu nfo, okwewala ebyandirira

E Kalungu wabaddewo akavuyo, ngomu ku besimbyewo erinnya lye teriralabikidde ku lukalala lwabalonzi.

Ate mu district y’e Mpigi ebyalo 2 ku byalo 339 tebilonze, okuli Bumbo ne Mitala-Maria NTC ngabesombyewo baayitamu dda nga tebavuganyiziddwa.

Okusinziira ku akulira ebyokulondesa mu district y’e Mpigi, Flavia Mujurizi atubuulidde nti weziweredde ssaawa bbiri amakya ga leero, abakozi bakakiiko k’ebyokulonda bonna babadde bamaze okutuuka mu bifo ebironderwamu.

Aduumira police e Mpigi, Diana Nyamisango ategeezezza nga nebyokwerinda bwebibadde binywezeddwa naddala mu byalo ebimanyiddwa nti abantu gyebasinga okukola effujjo.

Anokoddeyo ebyalo mu town council ya Mpigi, mu kabuga k’e Buwama, mu bizinga e Bunjako ne mu kabuga k’e Kayabwe nawalala.

Omuntu waffe ali Sadat Mbogo, atubuulidde nti abantu balabiddwako mu bungi mu bifo awalonderwa naddala mu butawuni.

Wabula akakiiko kebyokulonda kategezeza nti abatali mu nkalal zabalonzi, tebatekeddwa kulonda.

Kino kidiridde abe Nansana okwegugunga bwebagaanye okulonda, nga babadde baleese ndaga amuntu.

Wabula aomumyuka womowgezi wkaakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti endaga muntu eraga muntu nga munansi naye teraga abutuuze.