Amawulire

emitwalo 10 beebafunye emirimu mu kwewandiisa

Ali Mivule

August 15th, 2014

No comments

Gen aronda Nyakiarima

Abantu abasoba mu mitwalo 10 beebafunye emirimu mu kitundu ekisoose eky’okuwandiika abantu, okufuna endagamuntu.

Wabula minister Aronda Nyakairima agambye nti emirimu gyigenda kukendera mu kitundu ekyokubiri.

Aronda agambye nti okuwandiika abantu ekitundu ekisoose kutambudde bulungi era n’eyebaza emikutu gy’amawulire, banabwabufuzi wamu ne bana diini.

Mungeri yemu aronda agambye nti minister terina busobozi okuwandiika bana Uganda abali emitala wamayanja.

Ye akulira okuwandiika abantu Pontius Namugera agambye nti okuwandiika abantu ku byalo ne kumiluka kwakungenda mu maaso mu Kampala ne mu municipali.