Amawulire

Emisaala mu kampala-abasomesa babigudde

Ali Mivule

July 15th, 2014

No comments

teachers stick their guns

Abasomesa mu Kampala nabo bavudde mu mbeera olw’obutasasulwa musaala.

Abasomesa bano bamaze emyezi 3 nga tebalaba musaala

Bategereganye kati okusisinkana KCCA olunaku lw’enkya okubanyonyola ku nsonga eno.

Ssabawandiisi w’abasomesa, James Tweheyo agambye nti tebajja kulonzalonza kwekalakaasa ssinga tebaweebwa misaala gyaabwe

Embeera eno yeeyavuddeko n’abasawo mu malwaliro ga KCCA gonna okussa wansi ebikola era lwa musaala

Wabula omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti obuzibu bwonna buvudde ku kutereeza nkalala kyokka nga ssente zituuka akadde konna