Amawulire

Emirimu gitambula bukwakku e Mulago

Ali Mivule

March 10th, 2014

No comments

Mulago hospital

Abakulira eddwaliro ly’eMulago beganye ebigambibwa nti abasawo mu ddwaliro lino bediimye.

Kino kiddiridde ebigambibwa nti abasawo abasoba mu 100 baatadde wansi ebikola lwakulwawo kusasulwa musaala.\

Omwogezi w’eddwaliro lino  Enock Kusaasira agamba ku bakozi abasoba mu mutwalo omulamba, abali eyo mu 217 bokka bebatanafuna musaala gw’omwezi oguwedde.

Kusaasira agamba abasawo abatanafuna musaala beebo abaluddewo okuwayo empapula zomusaala okuva mu ministry y’abakozi olwo omusaala gwabwe nagwo negukerewamu.

Agamba wabula kati abasawo bano bamaze okujuza buli kyeetagisa nga era olwokuna werunatukira emisaala gyaabwe bajja kuba bamaze okujifuna.

Mungeri yeemu omusasi waffe atuuse mu ddwaliro lino nakakasa nti ddala emirimu gitambula kinawadda.

Awatukirwa abalwadde abasawo bali mu kukola ku bonna abaletebwa.