Amawulire

Emirimu gisanyaladde mu kkooti

Ali Mivule

July 12th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Akediimo kabannamateeka ba gavumenti kasanyalazza emirimu mu kkooti ezenjawulo wano mu Kampala.

Bannamateeka baasalwo okusigala ewaka beebake lwamusaala mutono nga ne nsalessale ow’ennaku 14  gwebaali baawa gavumenti okubatunulamu y’aweddeko.

Bannamateeka bafuna wakati w’emitwalo 50 n’akakadde okusinziira ku ddaala ly’oliko.

Kkooti ezeisinze okukosebwa kuliko Mengo, LDC, kkooti ewozesa abakenuzi , Buganda Road n’eya City Hall .

Emisango egirimu bannamateeka abatali ba gavumenti w’amu n’abo abavunanibwa kaliisoliiso wa gavumenti gyegiwuliddwa nga era tekinategerekeka kigenda kutwala bbanga ki.