Amawulire

Emikolo gyo’kulayiza Amuriat gitandise

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Emikolo  egyokulayiza presidenti wekibiina kya FDC omugya Patrick Amuriat gitandise wali ku wofiisi zekibiina e Najjanakumbi.

Abangenyi abayite nabawagizi bekibiina batandiose dda okweyiwa ku wofiisi zekibiina, okubaawo ngabasaale ku mukolo guno.

Amuriat yalondebwa nga president wekibiina omugya ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, mu lutuula lwabakulembeze bekibiina e Namboole, okudda mu bigere bya Gen Mugisha Muntu.

Okusinziira ku amyuka ssabawandiisi wekibiina Harold KAIJA, omukolo gujidwako akawuuwo ku ssawa 4 geybuvuddeko, ngabadde presidenti wekibiina Maj Gen Muntu, agenda kukwasa munne Amuriate wofiisi mu butongole.

Munnamateeka wekibiina Lwadislus Rwakafuzi yagenda okukulemberamu omukolo gwokulayiza Amuriat, oluvanyuma wabeewo okwogera okuva mu bakulembeze.

Mu bagenyi abayitiddwa kuliko Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, munna DP Paul Kawanga Semogerere nabalala njolo.

Dr Kiiza Besigye naye talutiumiddwa mwana.

Kinajjukirwa nti Amuriat bamulayiza, amangu ddala nga yakalondebwa, wabula byeyalayira nebisazibwamu olwamateeka agambibwa nti tegagobererwa.