Amawulire

Emikolo gya Jubilewo gitandise.

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Obwakabaka bwa Buganda butegeezeza nga kaweefube w’okukuza emyaka 25  ssabasajja kabaka gyeyakamala ku Namulondo bwatandise, era nga emikolo gyenyni gitandise  mwezi guno.

Bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso, katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enteketaake eno egenda kutandika na musomo ogukwata ku ssekabaka Mwanga, nga guno gugenda kubeera wano ku hotel Africana nga 17th.

Katikito agambye nti omusomo guno gugenda kukolebwa prof. Lwanga lunyiigo.

Wabula mukusooka katikiro yanakuwalidde abantu abagufudde omuze okulwanira nga mumpiira gy’amasaza , baagambye nti bagenda kulemesa kaweefube okufuna abavugirizi abalala.