Amawulire

Emidaala gyakugabwa

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Wandegeya mkt

Emidaala egisoba mu 300 mu katale ke Wandegeya gyakugabwa oluvanyuma lwa ba nanyini jo obutalabikako kugikwata

Akulira bakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti bbo kati beebakola asala nga nebabayita abagikwata tebalabikako

Omudaala e Wandegeya guli wakati w’emitwalo 4 ne 8 buli mwezi ng’abataakwata midaala gino bagamba gyabuseere.

Abasuubuzi abali mu 500 beebakolera mu katale kano.