Amawulire
Embwa zisse ow’emyaka 2
Bya Shamim Nateebwa
Omwana owemyaka 2 afiiridde mubulumi obutagambiika oluvanyuma olwokulumibwa embwa.
Rinnet Namakula abadde azannya ne bato banne wali e Kawanda eggana ly’embwa nelibalumba banne basobodde okudduka ye ne zimukwata ne zimukwagula okutuusa lw’afudde.
Omutuuze abadde agenda okulima y’awulidde omwana ng’akaaba era bw’agenze okulaba ekimutuuseeko n’asanga embwa nga zimutaagula n’azigoba ne zidduka.
Atte ye nyina w’omwana Catherine Namakula agamba amawulire gaamusanze ku ssomero gy’abadde atutte abaana abalala.