Amawulire

Embeera yóbuddu ekyalemedde mu Africa- Alipoota

Embeera yóbuddu ekyalemedde mu Africa- Alipoota

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole kya Trust Africa ekifuba okulaba nga Afrika yefuga mu demokulasiya n’enkulaakulana ey’obwenkanya, kuzudde nti emisango gy’obuddu bw’abantu gikyaliwo mu mawanga mangi mu Afrika.

Alipoota eraga nti mu mawanga nga Mali, Bukina Faso, Mauritania, Niger, obuddu bw’abantu obukolebwa obutereevu bukyagenda mu maaso, wabula mu mawanga amalala omuli ne Uganda n’amawanga amalala ag’obuvanjuba bwa Afrika, obuddu obutali butereevu bukolebwa, olwa bantu abava munsi zabwe ne bagenda ebweru okukuba ekyeyo ekibavirako okusanga obulamu obuzibu enyo.

Akulira ebyempuliziganya mu kitongole kya Trust Africa Wone Abda, agamba nti abavubuka bebasinze okukosebwa, era asabye abakulembeze b’amawanga ga Africa n’omukago gwa Africa okubaako kyebakola kunsonga eno.

Ate ye Dr. Ebrima SALL, akulira ekibiina kya Trust Africa agamba nti Abafirika tebajja kuba na kitiibwa kyabwe n’ebiseera eby’omumaaso ebirungi, okuggyako nga basiima kyebali era nga baweereddwa eddembe okutambula n’okukola ebintu ku lwabwe.