Amawulire

Embeera ya batiini abafuna embuto e Kabale yeeralikiriza

Embeera ya batiini abafuna embuto e Kabale yeeralikiriza

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2023

No comments

By AObed Kankiriho,

Disitulikiti ye Kabale efuna abawala abakyali mu myaka gyabwe egyekitiini 1,300 abafuna embuto buli mwaka.

Bino byogeddwa akulira ebyobulamu mu disitulikiti eyo, Dr. Gilbert Arinaitwe mu lukungana olutegekeddwa ekibiina kya Local Sustainable Communities Organization,ne kigendererwa ekyokukubaganya ebirowoozo kunsonga zino.

Okusinzira ku Dr. Mateeka Kabale District yafuna abawala abali embuto nga tebanaweza myaka 20 abasoba mu 1,300 mu 2020, 1,400 mu 2021, ate abalala 1,470 mu 2022.

Wabula agamba nti emiwendo gino gyandiba nga na mitono kuba waliwo bangi abafuna embuto ne batya okugenda mu malwaliro

Omuwendo gwa baana abatanaba kwetuuka okufuna embuto doctor akitadde kukyabutababuulira ku bikwata ku byokwegadanga nga bato.