Amawulire

Embalirira ya 1.400m eyákakiiko akakola kunsonga za EAC egobeddwa

Embalirira ya 1.400m eyákakiiko akakola kunsonga za EAC egobeddwa

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Akakiiko ka Parliament akakola ku nsonga z’embalirira kagaanye embalirira y’akawumbi akamu n’obukadde 400 obubadde bwasabiddwa akakiiko ka Parliament ya East Africa nga zigenda kukozesebwa kumanyisa bantu ku bikolebwa Ministry ekola ku nsonga za East Africa mu mwaka ogw’eby’ensimbi 2023/24.

Mu nsisinkano bano gyebabaddemu, Sentebe w’akakiiko akakvunanyizibwa ku nsonga za East Noeline Kisembo abadde ayanjulira kakiiko embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Ono agamba nti obukadde 720 obubadde bwayise luwandaggirize ku Nyanja ezitalina newezisobola kubatuusa mu kawefube oyo kuba nga Ministry abantu bangi tebagimanyi nga nabaali bagiwulidde tebamanyi kiki kyekola.

Kisembo agamba nti  nga bayita mu kumanyisa abantu ebigenda mu maaso, balina essuubi byakwongera  okusikiriza abantu okwegattira mu  mu mukago.

Omubaka wa Sheema Municipality mu Parliament, Dicksons Kateshumbwa, yategeezezza nga offiisi essira bwesanye okuliteeka mu kumanyisa banna Uganda emikisa gy’obutale.