Amawulire

Embalirira- abamu bagisanyukidde ate abalala bakaaba

Ali Mivule

June 13th, 2014

No comments

 fuel pump

Abasomesa basanyukidde ekya gavumenti okubongeza omusaala

Gavumenti olunaku lwajjo yalangiridde obuwumbi 450 okukola ku musaala gw’abasomesa oguludde nga gubanjibwa.

Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kati balindiridde kulaba oba kino kyeyoleera ku nsimbi ezinabaweebwa. 

Bbo abakyala bbo nno ssibasanyufu n’embalirira eno gyebagamba nti egenda kukosa bbo.

Omu ku balwnairira eddembe ly’abakyala Kawamala Mushambi agamba nti okwongeza omusolo ku mafuta g’ettaala kigenda kukosa baana na bakyala kubanga beebasinga okugakozesa

 Mushambi agamba nti kigenda kubeera kizibu abayizi okusoma ebitabo kubanga wajja kubaawo okukekkereza otufuta

 Bbo nno ababazi be bitabo baanirizza embalirira eno nga ekisinze okubasanyula kwongeza mafuta ga ttaala.

 Akulira ekibiina ekibagatta Derrick Nkajja agamba nti kino kigenda kukendeeza ku bakujjukujju abagatta amafuta g’emmotoka n’ettaala kubanga gajja kuba ga buseera

 Kyokka ate yoomu akkiriza nti kino kigenda kukosa abantu bangi abakyakozesa amafuta

 Ab’ekibiina kya DP bagamba nti embalirira eyasomeddwa olunaku lwajjo yabamazeemu amaanyi

 Ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agamba nti embalirira eno yayongedde kunyigiriza Muntu wa bulijjo