Amawulire

Ekomo ku myaka lityoobola edembe ly’obuntu- President yaagambye.

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Ben Jumbe.

 

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni ategeeza nga okuteeka ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga bwekikontana n’enyingo esooka eya ssemateea owa 1995  egamba nti obuyinza buli mumikono gy’abantu.

Bino President Museveni yabyogedde kawungeezi kayise bweyabadde asisinkanyeemu akakiiko ka parliament akakola ku by’amateeka nga kano kakabede kagenze ku mwebuzaako ku kyalowooza ku ky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Munsisinano eno President agamba nti banna- uganda bebalina obuyinza okusalawo omuntu anabakulembera, kale nga okubateerawo ekomo kuba kubatwalako buyinza bwabwe .

Ono agamba nti kimwewunyisa okulaba nga waliwo abawakanya ekomuntu okulondebwa nga besigama kku nsonga z’emyaka, kyoka nga ate tewali teeka likugira Muntu kulonda.

Ono anokodeyo amawanga nga America, China, Russia ne Israel gagambye nti gakulakulanya, wabula nga gano gafugibwa abakulembeze banamukadde n’okusinga abakulembeze ba uganda.

Ono teyakomya awo anokodeyo ne gwanga lya Tunisia erikulemberwa Beji Caid Essebsi  ow’emyaka 91 kyoka nga asobodde okutebenkeze egwnga lino.

 

Kunsonga y’okukadiwa, kko nokugonda kwomubiri- president agambye nti guno simuzanyo nga gwakusamba mupiira, kale nga president teyeetaga  kubeera wa myaka mito okuwereza.