Amawulire

Ekizimbe kigudde ne kitta omwana, abalala 6 balumiziddwa mu Nyendo

Ekizimbe kigudde ne kitta omwana, abalala 6 balumiziddwa mu Nyendo

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu kabuga ka Nyendo enkuba ekedde okutonnya obutasalako bwesudde ennyumba okukakkana nga esse omwana abalala mukaaga nebagendera ku bisago.

Omugenzi ategeerekese nga ye Mayimuna Nansamba nga abadde mutuuze mu Mukudde zone mu division ya Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka.

Kinajjukirwa nti mu zone yemu eya ku lwokusatu lwa sabiiti eno ekisakaate kye ssomero lya Centenary High School Nyendo kyagwira omukyala Betty Nabalonge nekimutta.

Ayogerera poliisi mu bendo-bendo lye Masaka Twaha Kasirye akakasizza kino n’agamba nti batandise okunoonyereza kukiviiriddeko ennyumba okugwa.

Omulambo gwa Nansamba gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebejjebwa nga n’abalumiziddwa bali mu ddwaliro okwongera okufuna obujanjabi.