Amawulire

Ekitongole kyámazzi kyetaaga obuwumbi 421 okutuusa amazzi mu Kampala

Ekitongole kyámazzi kyetaaga obuwumbi 421 okutuusa amazzi mu Kampala

Ivan Ssenabulya

November 9th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ekitongole kya National Water and Sewerage Corporation kinoonya ssente ezisoba mu buwumbi 421 okusobola okutuusa amazzi mu maka gábantu mu bitundu bya  Kampala némiriraano.

Yinginiya Silver Mugisha, akulira kitongole kino bino abyogedde bwabadde asisinkanyemu  omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa bwebadde agenze okulambula ekyuma ekirongoosa amazzi e Katosi.

Okugaziya emikutu gy’okubunyisa amazzi n’okutuukiriza obwetaavu bw’amazzi mu Kampala némirirano, omuli Kampala City, Mukono, ne Wakiso, Eng. Mugisha abikudde ekyama nti ekitongole kyeetaaga ensimbi ezenyongereza obuwumbi bwa Sillingi 421.

Alaze nti ebitundu 52 ku 100 byokka ku busobozi bw’ekyuma ekirongoosa amazzi e Katosi bye bikozesebwa olw’emikutu gy’okubunyisa amazzi emitono.

Ekyuma kino kifulumya liita z’amazzi obukadde 70 buli lunaku, nga kino kigwa wansi ku busobozi bw’amazzi obwateekebwawo obwa liita obukadde 160.

Tayebwa akikkaatirizza nti okukozesa obubi ekifo kino kiremesezza ensimbi eziyinza okuva mu NWSC, n’asaba abaddukanya emirimu okwanguya empapula ezeetaagisa okuyisibwa Kabineti nga Palamenti tennawa kukkiriza kwayo.