Amawulire

Ekitongole ekiramuzi kyetaaga abalamuzi mu kkooti ento abasoba mu 2000

Ekitongole ekiramuzi kyetaaga abalamuzi mu kkooti ento abasoba mu 2000

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ssabalamuzi wa Uganda Alfose Owiny Dollo agamba nti ng’esiga eddamuzi lyetaaga abalamuzi abali ku daala lya Court Ento 2000 n’abalamuzi abawaggulu 150 ekizibu ky’obungi bw’emisango egitudde nga tegiwulirwa bwekiba nga kinanogerwa edaggala.

Kino kijidde mu kiseera ng’olunaku lwa ggyo President Museveni yalonze abalamuzi 4 nga basatu bagenda ku Court Ensukkulumu ate omulala nga agenda ku Court Ejulirwamu.

Dollo agamba nti ng’esiga eddamuzi lyetaaga okubeera n’omulamuzi ali ku daala lya Court Ento mu buli gombolola nga gemagombolola agali eyo mu 2000 n’omusobyo.

Yabadde ntebe ku Imperial Golf View Hotel Entebbe gyeyaguliddewo olusirika lw’abaluzi 17 abapya aba Court Enkulu luno nga lugenda kukulungula sabiiti ebbiri namba.

Dollo yasinzidde eno nalabula  abalamuzi ba semugayaavu nabanalowooza okulya enguzi ng’obwabwe bwelubakeeredde.

Jameson Karemani ayaogerera essiga eddamuzi yayogedeko naffe ku kigendererwa ky’olusirika luno.