Amawulire

Ekitongole ekiramuzi kitadewo 1.2bn okukola ku misango gyébyókulonda

Ekitongole ekiramuzi kitadewo 1.2bn okukola ku misango gyébyókulonda

Ivan Ssenabulya

August 10th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekiramuzi kitegezeza nga bwekimaze okufuna ensimbi ezigenda okweyambisibwa mu kuwuliriza emisango egyekuusa ku byókulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, omwogezi wekitongole kino Jameson Karemani agambye nti bafunye akawumbi 1.2 okukola ku misango 155 nga kuliko egyababaka ba palamenti ne gyava mu gavt ezebitundu.

Agambye nti buli musango gwakumala ennaku 30 okuva ku lunaku olwokuguwulirako.

Wabula alabudde abatwala emisango mu kkooti okwewala okutuuma mu kkkooti ngennaku z’omwezi 16th August, nasaba balinde bwebali yitibwa wakati mu kugoberera ebiragiro ebyayisibwa mu kulwanyisa ekirwadde kya covid 19.