Amawulire

Ekitongole ekiramuzi kisabiddwa okuteeka munkola enfuga ey’amateeka

Ekitongole ekiramuzi kisabiddwa okuteeka munkola enfuga ey’amateeka

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, 

PULEZIDENTI w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society alajaanidde ekitongole ekiramuzi okutumbula obuvunaanyizibwa n’enfuga y’amateeka ng’engeri y’okussa ekitiibwa mu mugenzi eyasooka okuba ssaabalamuzi weggwanga Benedicto Kiwanuka.

Kiwanuka yatemulwa lwa kwagala n’okussa ekitiibwa mu nfuga y’amateeka, eddembe ly’obuntu n’obwenkanya.

Yakwatibwa n’effujjo basajja beyaliko omukulembeze weggwanga omugenzi Iddi Amin okuva ku yaffeesiye ku kkooti enkulu mu kampala, n’attibwa era ebisigalira bye tebizuulibwanga.

Bwabadde ayogerera mu musomo gw’okujjukira Benedicto Kiwanuka ogw’omulundi ogw’omukaaga ogugenda mu maaso ku kitebe kya kkooti enkulu mu Kampala, Bernard Oundo, pulezidenti w’ekibiina omwegatira bannamateeka agamba nti obuvunaanyizibwa bw’ekitongole ekiramuzi n’obwerufu bisobola okukozesebwa okutumbula obulungi emirimu mu kkooti n’obwetwaze bw’ekitongole ekiramuzi.

Era asabye ekitongole ekiramuzi okutandika okuvvuunula ensala ya kkooti mu misango mu nnimi ennansi.