Amawulire

Ekitongole ekinarungamya ebisale byobupangisa kyetagisa

Ekitongole ekinarungamya ebisale byobupangisa kyetagisa

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Aba Uganda Consumers’ Protection Association (UCPA), bawabudde nti waliwo obwetaavu, okutondao ekitongole ekyetongodde ekya Rent Regulatory Board, okulungamya nokuteeka mu nkola etteeka lyobupangisa.

Ssenkulu wekitongole kino Sam Watasa agambye nti ekitongole kino kyekisaanye okulungamya ensonga yebisale.

Agambye nti basobola okugereka ekkomo ku bisale, okwewala ba nnyini mayumba okwongeza buli lwebagalidde.

Ebbago lya Landlord and Tenant Bill, 2021 lyayisibwa mu palamenti wiiki, nga lisigalidde kutekebwako omukono omukulembeze wegwanga.

Mu bbago lino, nnanyini nnyumba alina obuyinza okuyingira nabowa ebintu byomupangisa mu nnaku 30, ssinga abeera alemereddwa okusasula.

Tewatekeddwa kuweberawo kwongeza bisale kusukka 10%, atenga omupangisa atekeddwa okusooka okumanyisibwa mu nnaku 60.