Amawulire

Ekisiibo kituuse

Ali Mivule

May 25th, 2017

No comments

 

 Bya Shamim Nateebwa

Abayisiraamu basabiddwa okutunula nkaliriza okulaba oba omwezi gunaboneka olwaleero.

Akulira ebya Sharia mu  Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu agamba omwezi gwandiboneka akawungeezi kaleero nga era singa guboneka okusiiba kuba kwalunaku lwankya.

Wabula singa olwaleero teguboneka olwo okusiiba awatali kubuuza kwakutandika ku lunaku lwomukaaga oluvanyuma lw’ennaku 30 ez’omwezi gwa Shaban.

Sheikh Yahaya Kakungulu asabye buli asooka okulaba omwezi ategeeze omulala.

Ye supreme Mufti Sheikh Sliman Kasule Ndirangwa n’ategeeza nti omwezi gw’ekisiibo mwemwakkira Quran kale okujisoma kikulu nyo kale nga abantu basanye okugisoma.