Amawulire

Ekisakaate ky’amasaza kibumbujja

Ali Mivule

April 29th, 2015

No comments

Ekisaakate kitonmgozeddwa

Ekisakaate ky’abaana ba Buganda ekitambulira ku musingi gw’amasaza kiyingidde olunaku olw’okusatu nga kibumbujjira ku ssomero lya Royal Giant e Mityana mu ssaza lye Ssingo.

Ekisakaate kino kitambulidde ku mulamwa gw’okunyikiza enkolagana ennungi mu baana ssaako okulonda abakulembeze b’abasaakaate okusinziira ku masaza abaana bano gyebava.

Omubanguzi  omukulu mu kisakaate ky’omulundi guno Rashid Lukwago, ategeezezza nti obuganda bumanyiddwa ng’obutambulira ku nnono y’obugunjufu kyokka nga ng’eza ba jjajja ffe tezerabiddwa

Rashid Lukwago ategeezezza nti okusomoozebwa kukyali kungi okwolekedde omulembe guno mu nkuza y’abaana bwebakizudde ng’abaana abava mu bisakaate nga balongooseddwa ate olw’embeera oludda ewaka nga baddirira.

Ayogedde ku nkyukakyuka eziri mu ggwanga ensangi zino omuli abazadde okuyombera mu maaso g’abaana, okwambala enkunamyo ssaako obuseegu ku TV ne ku zileeleetu nga bino kati tebiriiko akuba ku mukono.