Amawulire

Ekisaawe kye Kasarani mu Nairobi kijjudde.

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2017

No comments

Bya samuel Ssebuliba

E Kenya agavaayo galaga nga ekisaawe ekya Kasarani mu Nairobi bwekijjudde, nga abantu beeyiye mukifo kino okwetaba ku mukolo ogw’okulayiza omukulembeze we gwanga Uhuru Kenyatta.

Mukaseera kano abakola ku by’okwerinda baggadde   gate z’ekisaawe kyonna, era  nga abantu abasinga kati balinye wagulu kubizimbe okulengera ekigenda mu maaso mu kisaawe kino.

Ssemateeka wa Kenya alagira omukolo guno okukolebwa waakati we saawa enya n’omunaana ogw’emisana.