Amawulire

Ekisaakaate ky’abaami kigaddwaawo leero.

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2017

No comments

Bya shamim Nateebwa.

Ssabawolereza w’obwakabaka, Owek.David Mpanga amakya ga leero aggaddewo omusomo gw’abasajja oguyitibwa ‘’ekiziri’’,ogubadde guyindira ku Bulange wano e mengo.

Ono yoomu ku kaweefube w’okuzza obumu mu maka wamu n’okumalawo obutabanguko obususse .

Mukwogera Owek. Mpanga asabye abaami okubeera abakakamu eri  bakyala baabwe,kko n’okutuukiriza obuvunayizibwa bwabwe.