Amawulire

Ekirwadde kya Tetenansi kyeyongedde mu ggwanga

Ekirwadde kya Tetenansi kyeyongedde mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Uganda efuna abalwadde b’ekirwadde Kya Tetanansi abali wakati we 3000 ne 5000 buli mwaka okusinziira ku alipoota yékibiina kya Uganda National expanded program on immunization (UNEPI).

Bino bikakasiddwa Kenneth wehhonge akulira Ekitongole kyobwannakyewa ki coalition for health promotion and social development (HEPS Uganda ) bwabadde mu kutongoza kampeyini y’okulwanyisa ekilwadde Kya Tetanus egenda okumala omwezi mulamba n’agamba nti kino kiva ku bantu butafaayo kumalayo ddoozi z’okwegemesa eziragibwa Ekitongole ky’ebyobulamu mu ggwanga.

Wabula yye kamisona avunanyizibwa ku byobulamu ebyawamu, okuva mu minisitule eye byobulamu, Allan Muruta, agambye nti ekirwadde Kya Tetanus kibi nyo era bannaUganda banji bafiira eyo mu byalo nga balowooza nti ddogo n’abakkubiriza abantu okuddukira nga mu malwaliro bayambibwe.