Amawulire

Ekirwadde kya Covid-19 kizeemu- bannauganda balabuddwa

Ekirwadde kya Covid-19 kizeemu- bannauganda balabuddwa

Ivan Ssenabulya

June 6th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule ye byobulamu etegezeza nga bwewaliwo okweyongera ku muwendo gwa bantu abakwatibwa ekirwadde kya COVID-19 buli lunaku bwegerageranya nga bwekyali kuntadikwa yomwaka guno.

Minisita owe byobulamu Dr Jane Ruth Aceng agambye nti okweyongera mu balwadde ba covid kati kyenkana nga bwekyali mu mwozi ogwo mukaaga omwaka oguwedde, akawuka ka covid aka Delta wekayingirira mu ggwanga.

Wabula minisita agambye nti gavumenti ntegefu okwenganga ekirwadde kino singa kyeyongera.

Aceng akubiriza bannauganda okugenda okugemya nokwambala obukokolo , nokugoberera ebiragiro byonna ebyayisibwa mu kutangira ekirwadde kino obutasasaana.