Amawulire

Ekikulukuto kikyaaliwo

Ali Mivule

October 27th, 2014

No comments

fisitula treatment

Abantu abalina obulwadde bwa Fisitula bakumalibwa mu myaka 80 egijja ssinga tewabaawo kikyuuka

Minisita omubeezi akola ku byobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agamba nti abakyala emitwalo 20 beebalina obulwadde buno obwekikulukuto nga ku bano bakalongoosaako abakyala enkumi bbiri mu bitaano.

Minisita agamba nti eggwanga lirina abasawo abalongoosa fisitula 20 bokka nga basobola kukola ku bantu lukumi bokka

Minisita bino abyogedde aggulawo olukiiko gagadde olugendereddwaamu okukubaganya ebirowoozo ku bulwadde bwa Fisitula