Amawulire

Egwanika lye Ggwanga likalidde-project zakuyimirira.

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Kyeyune moses.

 

 

Ministry ekola ku by’ensimbi eriko ekiwandiiko ekimambwe kyewerezza abadukanya ebibuga ku mutendera gwa town council kko ne n’amagombolola , nga kibalagira okuyimiriza mu project zaabwe  nga ensonga ya nsimbi ezitamala.

Ebaluwa evudde ew’omuwandiisi wa ministry eno Keith Muhakanizi  eraze  nga government bwetalina nsimbi zakudukanya project nga zino, kale nga bagwana balinde okutuusa mu mwaka gwa 2018/19.

Kinajukirwa nti Muhakanizi  ono aludde nga awakanya ekya government okumala gatodawo district endala , era nga agamba nti kino kigenda kuvirako ensimbi obutamala.