Amawulire

Eggye lya UPDF lisiimiddwa olwénneyisa ennungi

Eggye lya UPDF lisiimiddwa olwénneyisa ennungi

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisita avunaanyizibwa ku bya technologia, n’okulungamya eggwanga, Dr Chris Baryomunsi asiimye eggye lya UPDF olw’okukula kwerituuseko nga ne munneyisa beeyisa mu ngeri ey’ekikugu bw’ogeraageranya n’amagye ga gavumenti ez’asooka.

Okwogera bino sinzidde ku kisaawe e Kakyeka mu bikujjuko bya maggye ebya Tarehe Sita eby’omulundi ogwa 42 ebigenda mu maaso.

Baryomunsi agamba nti abajaasi ba UPDF balina okutenderezebwa olwenneyisa kuba kati abajaasi beeyisa nga bafaaza n’abalabirizi.

Baryomunsi agamba nti kyewuunyisa okukimanya nti abajaasi leero bassa ekitiibwa mu Bannayuganda bonna.

Mungeri yeemu awolereza amagye ku bigambibwa nti gaweereza gavt eri mu buyinza nagamba nti si kituufu kuba gafubye okusigala nga tegalina ludda mu byobufuzi.