Amawulire

E gwanga lyonna lyakudamu okutekateekebwa.

E gwanga lyonna lyakudamu okutekateekebwa.

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Government ategeezeza nga bwetandise okukola entekateeka egenda okulambika enkulakulana, kko n’ozimba amayumba mu gwanga lyonna nga eno emanyiddwa nga National physical development plan.

Okunonyereza kulaga nti wegunakonera omwaka 2040 nga abantu abasula mu Kampala n’emiriraano bakoonye obukadde 15.

Twogedeko ne Samuel Mabala nga ono ye director akola ku by’amayumba mu ministry y’ebyetaka n’amayumba , nagamba nti kino kigenda kulambika engeri amayumba gyegazimbibwa okutuukira dala ku byalo.

Ono agamba nti mukaseera kano buli ayagala okuzimba yaagenda mu maaso nga tamaze nakwebuza ku bakulemebeze , kyoka nga kyabulabe.