Amawulire

Eddagala eryabadde ligenda okukaddiwa lyakozeseddwa

Eddagala eryabadde ligenda okukaddiwa lyakozeseddwa

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2021

No comments

Bya Shabibah Nakirijja

Minisitule yebyobulamu etegezezza nga bwewaliwo eddagala erigema ssenyiga omukambwe doozi emitwalo 6 mu 7,000 lyebakozesezza eribadde lyolekedde okuyitako, ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Bweyabadde ayogerera mu nisisinkano ne banadiini wansi wa Inter religious council of Uganda, akulira byokugema mu minisitule Dr Alfred Driwale yagambye nti ku Sunday, mu Kampala mwokka baasobodde okukozesa eddagala doozi 7000 nebagema abantu mu makanisa.

Eddagala, disitulikiti 70 zaakozesezza eddagala eryabaweebwa, nga Arua ne Moyo bebkyalina eddagala 1000.

Wiiki ewedde omukulembeze wegwanga yalabudde okugoba ba CAO, ba RDC neba DHO abakulira ebyobulamu, mu bitundu eddagala gyerinayitako nga terikozeseddwa.

Eddagala lya AstraZeneca ne Pfizer eririwo, kitegezeddwa nti lyakukaddiwa mu Novemba womwaka guno atenga erya Moderna lyakugwako omwaka ogujja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *