Amawulire
Eddagala ly’eby’obulimi litereddwako envumbo
Bya Juliet Nalwoga, Minisitule y’eby’obulimi, obulunzi n’obuvubi etadde evumbo ey’akaseera ku ddagala erikozesebwa mu by’obulimi obulunzi n’obuvubi mu kawefuube ow’okukendeeza ku muwendo gwe ddagala ly’ebirime okugutatukaganye na mutindo.
Taani eziwereddala 83 ez’eddagala ly’epicuupuli ze zikwatiidwa mu bitundu bye Masaka mwokka.
Bw’abadde ayogerako mu lukugaana lw’abannamawuliire minisita w’obulimi, obuluzi n’obuvubi, Vincent Ssempijja ategezezz nga ekitongole ky’ebyobulimi bwekikosedwa n’eddagala lye picuupuli .
Ssempija agamba nti lino litambuzibwa abo abalina lisensi na batalina wabula nga gavumenti ekola buli kisoboka okufutiza abakikola