Amawulire
Eby’okulonda bituuse mu palamenti
Palamenti ekyagenda mu maaso n’okuteesa ku nongosereza za ssemateeka wakati mu miranga gy’abavuganya gavumenti okuteekawo akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde,
Akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula oguttu agamba akakiiko akaliwo mu kiseera kino kaliko akabuuza.
Agamba akakiiko kano okubeera akamazima, ba kamissiona abakakulira balina kusunsulibwa palamenti oluvanyuma amanya gaabwe gasindikibwe eri omukulembeze w’eggwanga alondemu sso ssi ye kubalonda besindikibwe eri palamenti okubakakasa.
Wabula minisita w’ebyokwerinda Dr. Chrispus Kiyonga ategezezza nga akakiiko kano bwekali akamazima nga y’ensonga lwaki omuwendo gw’ababaka abavuganya gavumenti gweyongedde mu palamenti.