Amawulire
Ebyokukuba bannamawulire Ochola agamba yali asaaga
Bya Damali Mukhaye,
Ssabapoliisi Okoth Ochola ategezeza nga ebigambo bye bweyategeeza nti bannamawulire bakusigala nga bakubibwa abakuuma ddembe nti yali asaaga.
Bino yabyogera kuntandikwa yomwaka guno mu lukungana lwa banamawulire e Naguru bweyategeeza nti okubakuba kuba kubataasa.
wabula bwalabiseko mu maaso ga babaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akebyokwerinda, Ochola, ababaka bamusabye abatangaze kyeyali ategeeza kunsonga eno wabula nagamba nti ye yali asaaga
Wabula omu ku babaka abatuula ku kakiiko kano, Gilbert Olanya, owe Kilak South agambye nti Ochola yali tasaaga kuba bannamawulire basigala bakubwa mu biseera byokuwenja akalulu