Amawulire

Eby’okugula leediyo gavumenti yabijeemu enta

Eby’okugula leediyo gavumenti yabijeemu enta

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo batadde ku bbali entekateeka yokugula radio, obukadde 9 kyebaali batandikako okusomeseza abaana awaka.

Kino kibikuddwa minisita owebyenjigiriza ebya waggulu John C Muyingo, bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akalondoola ebosubizo bya gavumenti akadde kakubirizibwa omubaka wa Kalungu West, Joseph Sewungu.

Muyingo agambye nti kino bakivuddeko kubanga bakyanjulira palamenti naye negaana okukiwagira

Kati agambye nti bagenda kukozesa ensimbi obuwumbi 48 nekitundu okugula material, anakozesebwa okusomesa abaana aba P1 okutuuka ku P4.

Zino era zaakukozesebwa okugula ebinasomesebwa abayizi ba S5 ne S6.