Amawulire

Ebyekiteeso Kyokujikwatako Bikyali mu Lusuubo

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Omumyuka wokubiriza wa palamenti asabye ababaka abesunga okuleeta ekiteeso kyokuleeta ebbago ku myaka nti balindeko, kubanga kiri mu lusuubo.

Jacob Oulanyah ababdde akubiriza palamenti akawungeezi ka leero, nagamba nti bagenda kusooka kutuula ne mukama we Rebecca Kadaga, okukanya obanga kino kinabeera ku lupapula lwebyo ebiganda okutesbewako.

Ategezezza nti bafunye okwemulugunya okuva mu bantu babulijjo abawerako nga bawakanya, ebyo aba NRM byabatekateeka owanjula.

Asabye ababaka ne gwanga okusigala nga bakakamu.