Amawulire

Ebyava mu bigezo bya S6 bifulumye

Ali Mivule

February 27th, 2015

No comments

 

Jessica Alupo

Minisitule y’ebyenjigirza efulumizza ebyava mu bigezo bya siniya 6 eby’omwaka oguwedde.
Abayizi bakoze bulungi nga era 98.7% bayise bw’ogeregeranya ne 97.4% abayita mu 2013.

Okusinziira ku ssabwandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo mu ggwanga Matthew Bukenya  abayizi 64,100 bayise nga era basobola okwegatta ku yunivasite n’amatendekero agawaggulu amalala.

Bukenya ategezezza nga ebigezo by’abayizi 173 bwebikwatiddwa lwakukoppa bw’ogerageranya ne 34 ebyakwatibwa mu 2013.
Ku massomero agakoseddwa kuliko  Lunar International School okuva  mu disitulikiti ye  Buyende, Nsambya Hill Side e Wakiso n’amalala.

Amassomop ga  Arts gakoleddwa bulungi okusinga ku ga Sayansi nga bbo abawala bayise okusinga ku balenzi.
Ku massomo agakoleddwa obulungi kuliko  History, Economics, Islamic Education ne  Litulikya mu Lungereza.

Amassomero gomubibuga gakoze bulungi okusinga ku gomubyaalo.

Disitulikiti ezikoze obubi kuliko  Adjumani nga eno abayizi 19 beebayise, Katakwi 8 bokka, Kotido 5, ne Pader 11 .

Abakulira amassomero basabiddwa okugenda ku ofiisi z’ekitongole ky’ebigezo oluvanyuma lwa ssaaa 8 bakime ebigezo by’abayizi sso nga osobola okubifunira ku ssimu nga ogenda mu bubaka bw’essimu yo owandiike ekigambo UNEB lekawo akabanga wandiika Index Number osindike ku 6600.

//////////