Amawulire

Ebya ssiniya eyo’kuna bifulumye

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Moses Ndaye

Ministry ekola ku by’enjigiriza wetwogerera nga emaze okufulumya ebibuuzo by’abaana aba S.4 nga  bino biraze nga abaana bwebaakola obulungi bwogerageranye ne babaabwe ab’omwaka 2016

Bwabadde afulumya ebibuuzo bino , ssentebe w’ekitongole kino ekya UNEB Prof.Mary Okwakol  agambye nti mu mwaka 2017 abaana abaayitidde mu daala erisooka baali ebitundu 10, bwogerageranta n’ebitundu 7.5% omwaka 2016.

Mukubala okwangu ku baana e mitwalo 32 abaatula omwaka guno abaana  ebitundu 91.1% bebaayise bwogerageranta nebitundu  87% abaayita omwaka 2016.

Mungeri  yeemu  ono atubuulide nti abaana abasinga baayitidde mu daala kyakuna, anti ebitundu 41% bebayitidde mu daala lino erisembayo.

Wabula ono ategeezeza nga  omuwaatwa oguli wakati w’abaana abalenzi nabawala gugenze gugwaawo, anti kuluno kumpi benkanenkane.

Kati kubaana bano 320,000 abaatula  emitwalo 287,000 bebaayise , songa  27,000 bbo baagudde

Ate ye ssabawandiisi w’ekitongole kino omukulu Dan Odong atubuulide nti abaana abewandiisa nebatajja kukola bibuuzo bagenze bakendeera okuva ku bitundu 2%  muu 2016 nebadda ku bitundu 1.9% 2017  wabula nga abasinga kubataakoze bibuuzo babade balenzi.

Ono agamba nti abaana abalenzi abawerera dala 3,121  bebatalabikako mukadde kokukola ebibuuzo, songa abawala baali 2,972.

Mungeru yeemu kizuse nga abaana 4,525 ebibuuzio byabwe bikwatiddwa ekitongole kino nga enonga zeekusa kukubba ebibuuzo.

Agamu kumasomero agatagenda kufua bibuuzo kuliki Midland highschool Kawempe, Kingstone high school  Kawempe, Nserester Vocational –masaka, Crested ss Kawempe, Kajjansi progressive  Wakiso n’amalala.

Omukulu odong agambye nti kunsonga zabano ababba ebibuuzo abantu 81  bebaakwatibwa ku byekusa kukuyambako abaana okukoppa ebibuuzo, 49  kubano baatwalibwa mu kooti , songa abasigadde  akadde konna nabob agenda mu kooti babitebye

Ono agammbye nti abaana abasing baakwatibwa bakoppa amasomo ga science nadala  biology physics  chemistry n’okubala

Abaana abategenda kufuna bibuuzi byabwe baatulira mubifo 112  okwetoloola uganda yonna.

Ezimu ku district ezisinze okukola obubi kuliko Bukwo  ne butaleja , nga zino zezikulemebedde

Bundibugyo  negoberere ,Kween,Kapchorwa, bullisa,bulambuli,Pallisa,Sironko,Busia,Kasese ane bududa.

Zzo district ezikoze obulungi zikulembeddwamu Wakiso  nga eno abaana 7000 bayitidde mu daala erisooka, Kampala  nedako nga eno abaana 3,895 bayitidde mu dale erisooka, Mukono nedako , Mbarara,Luweero  kko nedala.

Mungeri yeemu Odong atubuulide nti abaana abatuulira mu masomero agatali ga government baakoze bulungi nyo okukira kubanaabwe aba government.

Atubuulide nti abaana 6,005  bebaayitidde mu daala erisooka mu masomero aga government, kyoka agatali ga government nebayisa abaana 25,300  mu dale erisooka.