Amawulire

Ebya Museveni babiwakanyizza

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abalwanirizi be ddembe lyobuntu bavuddemu omwasi ku nsonga za gavumenti 9 omukulembeze we gwanga zeyalambise olunnaku lwe ggulo, ezinayitwamu okulwanyisa obutali butebenkevu mu gwanga.

Akulira ekitongole kya Human rights network Uganda Mohammend Ndifuna akubye ebituli mu ntekateeka yonna eyayogeddwako nti ya biseera byamumaaso, atenga embeera eganda mu maaso yetaaga ekyokuddibwamu ekyamangu kubanga bann-Uganda batemulwa nga nabasigadde emitima gyewanise.

Ndifuna okowgera bino abadde lukungaana lwabanamwulire olutudde emisana ga leero.

Ono awabudde nti gavumenti egwana esattulule obubinja bwonna obuli mu waganga obugambibwa okubeera emabega wobutemu nokumenya amateeka.

President Museveni akakwungeezi akayise yategezezza palamenti, ensonga 9 ezigenda okukolebwa okutereza ebyokwerinda ebiyuuga.