Amawulire

Ebya Mbabazi ssi byebikulu

Ebya Mbabazi ssi byebikulu

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo : Omukulembeze wa Uganda Museveni

File Photo : Omukulembeze wa Uganda Museveni

Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM ssibakuteesa ku nsonga z’eyali ssabaminisita w’eggwanga wabula ensonga z’ekibiina endala ez’etagisa okukolebwko amangu ddala.

Kino kiddiridde ssentebe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga okuyita abababaka b’akabondo ka NRM okuteesa ku ku nsonga ez’enjawulo mu kibiina.

Omwogezi w’akabondo k’ababaka bano Hamson Obua ategezezza nga bwebagenda okuteesa mabago ag’enjawulo agali mu palamenti okuli n’eryenongosereza ku tteeka ly’obuli bw’enguzi.

 

Abavubuka b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Amudat basabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okulaba nga atabaganya abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti eno bebalumiriza okwabululamu ekibiina olw’ebigendererwa byabwe.

Omukubiriza w’abavubuka mu disitulikiti eno Peter Kiplarit mu gombolola ye Loro ategezezza nga ekibiina mu kitundu kino kati bwekyawuddwamu ebiwayi 2 nga bano bagugulana nga kyandivaamu n’okuyiwa omusaayi.

Abavubuka bano era basabye ssabawandiisi w’ekibiina okuddamu okutegeka okwewandiisa kwabannakibiina kubanga ku bannakibiina nga emitwalo 5, abali wansi w’emitwalo ebiri bebewandiisa.