Amawulire

Ebya Lwakataka ssi birungi- waliwo amulumiriza okutta

Ebya Lwakataka ssi birungi- waliwo amulumiriza okutta

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

Omusajja abadde avunaanibwa ne kafulu mu kuvulumula emmotoka Ponsiano Lwakataka asingisiddwa emisango mwenda egy’ettemu

Asuman Muddu yakkirizza okutta ab’omu maka g’omusumba Steven Mugambe gwebalumba mu matumbi budde.

Asuman Muddu ne banne okuli Vincent Fangesi,  Ponsiano Lwakataka ne Emmanuel Zinda baalabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka , John Keitirima yalabikako mu kkooti n’akkiriza emisango kyokka Lwakataka n’agyegaana.

Kkooti etegeezeddwa nti nga 15 January mu mwaka 2013, abakulu bano n’abalala abakyawenjebwa balumba ab’omumaka g’omusumba Mugambe atwala kkanisa ya Kyebe nebamutta n’abantu be bonna.

Muddu akkirizza emisango alumiriza Lwakataka okuba nti yamusasula obukadde 30 okutta omusumba era nga muno mweyatwalira n’abalala bonna beyali abeera nabo

Bonna baddiziddwaayo mu kkomera nga Muddu wakusalirwa ekibonerezo akadde konna.