Amawulire

Ebya Lukwago bikyaali bibi

Ali Mivule

August 21st, 2014

No comments

Lukwgao sad

 

Olugendo lwa loodi meeya Eras Lukwago okudda mu ofiisi okudda mu ofiisi lukyali luwanvu.

Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga egobye okusaba kwe nti adde mu ofiisi n’emusindika mu kkooti ejulirwaamu

Lukwago yemulugunya nga awakanya ekyasalibwawo omulamuzi Steven Kavuma okumugoba mu ofiisi nga ate kkooti enkulu yali yamulagira okudda mu ofiisi.

Abalamuzi bagambye nti Lukwago bw’aba awakanya ebyasalibwaawo omulamuzi Steven Kavuma, yandibadde awaaba eri abalamuzi abalala mu kkooti yoomu .

Abalamuzi era bagambye nti amateeka tegagaana mulamuzi wa kkooti ejulirwaamu kusalawo ku nsonga yonna mu bwangu era nga kyeyakola kyaali kituufu

Bamaliriza nga balagira nti ebintu byonna bisigale nga webiri , Lukwago esigale bweru wa ofiisi.

Ebisaliddwaawo kkooti birese kkooti ewotose nga yye Loodimeeya agambye nti bakussa ekitiibwa mu kkooti badde mu kooti ejulirwaamu