Amawulire

Ebya Gen Kayihura okusibwa bigenze mu kooti.

Ebya Gen Kayihura okusibwa bigenze mu kooti.

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Waliwo bannayuganda babiri abagenze  mu mbuga z’amateeka nga baagala kooti enkulu ekyasanguze nti okusiba Gen Kale Kayihura mu komera ly’amajje wano e Makindye  kimenya mateeka , kubanga tatwalibwangako mu kooti yonna nga abazzi b’emisango abalala.

Abagenze mu kooti kuliko Issa  Ogomba  nga ono munamateeka ne  Sarah Rukundo  omuyizi ku UCU, nga bano baawawaabidde ssabawolereraza wa government.

Bano bagambye nti tebalina luganda ,wade omukwano ku Gen Kayihura , wabula kibaluma nga munna-uganda munaabwe aliisibwa akakanja.

Kati bano baagala kooti eragire nti Gen. Kayihura aretebwe mu kooti obutasuka saawa 48 , oba sikyo ateebwe mu bwangu dala.

Gen Kayihura yakwatibwa mu June 13th 2018 okuva mu makaage e   Kashagama wano e Lyatonde  era okuva olwo abadde mu komera nga tewali enyega.