Amawulire

Ebya Dr Aggrey Kiyingi ssi birungi

Ali Mivule

December 13th, 2013

No comments

Dr Kiyingi

Poliisi ekedde kuzingako maka ga Dr Aggrey Kiyingi e Buziga lwa bbanja.

Nga ekolera wamu ne bawanyondo ba kooti , bano bakasuse wabweru buli kintu kyonna wakati w’okuwakanyizibwa okuva eri ababadde bagisulamu.

Kino kiddiridde kooti enkulu wano mu kampala okuwa ekiragiro okuwamba enyumba eno olw’ebbanja ly’omukyala  Jackeline Diana Asiimwe lya bukadde obusoba mu 70.

Asiimwe agamba yaguza kampuni ya Kiyingi eya Dehezi International ensawo za Seminti ezisoba mu 1000 wabula n’alemererwa okusasula.

Adumira poliisi ya CPS  James Ruhweza agamba poliisi yayitiddwa kuwa bukuumi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *