Amawulire

Ebola akakasiddwa mu Uganda

Ebola akakasiddwa mu Uganda

Ivan Ssenabulya

June 12th, 2019

No comments

Bya Ndaye Moses

Ministry yebyobulamu wamu nekitongole kya World Health Organization, ekakasizza ekirwadde kya Ebola nga bekyagobye mu Uganda.

Mu lukungaana lwabanamawulire bebatuzizza, olwamangu akakwungeezi akayise, minister webyobulamu Jane Ruth Aceng akaksizza nti waliwo omulenzi owemyaka 5 eyatambula ne maama we okuyingira mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo, okujanjaba taata eyakakaksiddwa okubeera ne Ebola.

Bano oluvanyuma lwa taata okufa mu DRC, bakomyewo mu gwanga nga 10th June okuyita ku nsalo ye Bwera ngomwana mulwade, era nebagenda mu ddwaliro lya Kagando health center e Kasese okufuna obujanjabi.

Omukazi kitegezeddwa nti yali munansi wa Congo wabula nafumbirwa munna-Uganda nga babeera Kasese.

Omumyuka wa commissioner mu ministry Dr. Allan Muruta aliko, byatunyonyodde, nti maama kati yoomu ku bantu bebawudde.

Uganda okumala ebbanga ebadde ku bwerende, okuva Ebola lweyakaksibwa mu DRC mu August womwaka oguwedde.

Eno abantu abali mu 2,000 bebakafa.