Amawulire

Ebizinga byakukulakulanyizibwa

Ebizinga byakukulakulanyizibwa

Ali Mivule

September 22nd, 2015

No comments

File Photo: Ekizinga kye Kalangala

File Photo: Ekizinga kye Kalangala

Obwakabaka bwa Buganda butandise okunonya bamusiga nsimbi abanakulakulanya ettaka lyokubizinga bye Funve mu disitulikiti ye Kalangala erifa otulo awatali alikolerako.

Minisita wa ssabasajja ow’ebyettaka , obulimi n’obutonde bw’esni  Eng. Martin Kasekende ategezezza ga obwakabaka bwebulina ettaka eriwerako erisaana okukulakulanyizibwa.

Bino minisita Eng . Kasekende abyogedde alambula ettaka lino ne minsisita w’ebyobusuubuzi mu bwakabaka bwa Buganda Muhamood Thobani n’abalala abatuula ku kakaiiko k’ebyettaka.

Eng.Kasekende  nga era ye ssentebe w’olukiiko lw’ebyettaka olwa  Buganda Land Board ategezezza nga ekyapa ky’ettaka lino kyekimu kwebyo ebyaddizibwa obwakabaka bwa Buganda okuva eri gavumenti eyawakati mu 2013.